Ab'e Namulonge B'emulugunya Lwa Teeka

0
1021

Bannassaayansi ba Uganda baleese amawulire ag’essanyu nti bo balina ensigo ez’embala ezisobola okugumira ekyeya n’embeera y’obudde ekyukakyuka ensangi zino.
Dr Stanely Nkalubo kakensa mu kirime eky’ebijanjaalo era akulira ekitongole kya bannassaayansi abanonyereza ku birime (NaCRRI) ekiri e Namulonge agambye nti ensigo zonna ez’embala bazirina naye etteeka likyabakutte, okwo gattako omuwatwa ogukyaliwo wakati wabwe n’abalimi.