Akwatiddwa Abba Amasannyalaze

0
491

Oluvannyuma lw’obubbi bw’amasannyalaze okweyongera, ab’ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME e Mubende nga bali wamu ne Poliisi baliko ekikwekweto kyebakoze mwebakwatidde abantu ababadde beefudde mukoko mu kubba amasannyalaze ate nebassa obulamu bw’abalala mu matigga.
Mu kikwekweto kino, waliwo n’omuvubuka asinganiddwa nga asala waya z’amasannyalaze era emikono nebagizza gyegitaliira ntuungo.