Baggyeeyo Ebiso Nebeddiza Ettaka Ly'ebisolo

0
459

Okuvaako e Mbale, abatuuze kkooti be yalagira okwamuka ettaka ly’ekkuumiro ly’ebisolo erya Mt Elgon batabuse, ebiragiro bya kkooti babivuddeko ne baddamu okusenga ku ttaka eryo.
Balumbye ekkuumiro ne batema emiti ne batandika okuzimba.
Abatuuze bano baagobwa ku byalo 4 nga kwe kuli Maleka, Bunamooli, Bumansifa ne Namatyale, kyokka beerayiridde nti anaabakwatako ajja kulaba akabafaamu.