Bangi Bakungubagidde Luwandaga

0
713

Abadde munnamawulire w’ebyemizannyo omukukuutivu Omugenzi Andrew Patrick Luwandagga aziikiddwa leero wakati mu biwoobe n’okwaziirana okuva mu bakungubazi.
Kikakasiddwa nti olumbe olwasse Luwandagga ekibwatukira bwavudde ku mutima, ab’oluganda lwe kwe kutegeeza nti eddwaaliro ly’emitima ery’e Mulago litendewereddwa olw’abalwadde abeeyongera obungi.
Wano gavumenti w’esabidde bannamawulire bagende e Mulago banoonyereze ekituufu.