Bannamawulire Balabiseeko mu Paalimenti, Bakunyiziddwa

0
1123

Emikutu gyamawulire ena ku etaano egibadde giyitiddwa okulabikako mu kakiiko ka paalimenti akakwasisa empisa gigaanye okulabikako mu paalimenti nga bwegyaali giragiddwa okweyanjula nga gino nno gigamba nti Paalimenti terina buyinza bugiyita okujjako kkooti.
Wabula bbo abakulira olupapula lwa The New Vision beyanjudde mu kakiiko kano nebabuuzibwa akana n’akataano ku mawulire gebawandiika ku paalimenti agagambibwa okubeera aga kalebule.