Ebifa mu Lwera Kakande Gyasima Omusenyu

0
756

Ensonga y’omusumba Samuel Kakandeokusima omusenyu mu ngeri emenya amateeka n’okwonona obutonde bwensi mu lutobazi lwa Lwera ku luguudo lw’emasaka emaze sabiiti namba oluvanyuma lwokutusibwa eri paalamenti.
Kigambibwa nti kampuni ya Kakande eya Aqua World Uganda Ltd,emaze emyaaka ebiri ngesima omusenyu guno meter 100 okuliraana enyanja Nalubaale kyokka nga mu kusooka yali esabye NEMA olukusa lwa kusima bidiba okulunda ebyenyanja.
Amawuliregalaze nti kakande ngayita mu puulida we yasabye ekisonyiwo olwensobi eno sso nga nekilombe kyaagwa ddwa. Omusasi waffe abitaddemu engatto okutuuka mu Lweera okulaba ekituufu ekigeenda mu maaso.