Ebyavudde mu Nsisinkano ya Museveni ne Bammeeya

0
500

President Yoweri Museveni akkaanyizza n’abakulembeze b’ekibuga Kampala nti enkiiko ezifuga amagombolola 5 agakola Kampla baziddize obuyinza zisobole okuweereza bannakampala.
Bino byakkaanyiziddwaako mu nsisinkano president gye yabaddemu n’abakulembeze b’ekibuga, ba meeya bonna gye beepenye.
Mu nsisinkano eno president yasazeewo Kampala bagyongere ensimbi, era n’abakubiriza mu kisanja kino amaanyi bagasse ku kkola enguudo z’ekibuga, kyokka ensonga eyabadde esuubirwa ennyo okwogerwako ey’abatembeeyi, yo yagyebalamye.