Ebyokutuuza Omulabirizi Lubowa Bikyali Bizibu

0
781

Abakulisitaayo b’obulabirizi bwa Central Buganda beetemyemu ebiwayi bibiri, ng’ekibatabudde ye mulabirizi omuggya anaatera okutuuzibwa.
Canon Micheal Lubowa y’eyalondebwa okudda mu bigere by’omulabirizi anaatera okunnyuka, kitaffe mu Katonda Jackson Matovu, kyokka waliwo ekiwayi ekivuddeyo okumusimbira ekkuuli.
Omulabirizi Matovu ayise olukungaana bakkaanye, wabula embeera eyongedde kusajjuka.