Ekibiina Ky'amawanga Amagatte Kiwezezza 71

0
1235

Ensi yonna olwaleero yeegasse okujagulizaako ekibiina ky’amawanga amagatte okuweza emyaka 71nga kiweereza.
Wano mu Uganda gavumenti mu kukuza olunaku luno eyongedde okuwa obweyamu nti ya kunywerera ku nnyingo z’ekibiina ky’amawanga amagatte ez’okwekulaakulanya.
Ebiruubirirwa ebyo mwe muli okulwanyisa obwavu, okutumbula eby’obulamu, ebyenjigiriza, n’ebirala ebiringa ebyo.