Enjala Ekyazinyisa Ab'e Isingiro Oluguje

0
583

Bannayuganda mwekaabire, amawulire amabi gali nti enkuba eno ey’oluwandaggirize etandise okutonnya yandiba nga y’esembyeyo.
Buli mwaka sizoni ya Museenene bw’etuuka abalimi baba mu keetalo nga basiga, wabula abakugu ab’ekitongole ky’enteebereza y’obudde balabudde nti omwaka guno enkuba eyinza okuba entono.
Balaalise bannayuganda beerinde ekyeya ekyolekedde okwokya eggwanga okumala akaseera akawanavu.