Enkuba Esanyizzaawo Ebintu Ebiwera

0
599

Abatuuze mu byalo ebiwerako mu district ey’e Lwengo ge bakaaba ge bakomba, enkuba bikoco eyatonnye bangi yabalese mu nnaku etalojjeka.
Ku byalo ebiwerako enkuba yalese esudde ennyumba, amasomero , n’emmere n’egisaayira ku ttaka.
Abatuuze basigadde beemagaza abamu tebasigazza wakwegeka luba, n’abandi batidde nti enjala tolyamunno yaakubazinda.