Entereka Y'emmere Yeevudeko Kookolo Bakugu

0
615

Abakugu bakizudde nti endwadde kattira ezijojobya Abafirika ensangi zino nga ne kkookolo mw’omutwalidde, oluusi zisibuka ku mmere gye tulya, nga kalunsambulira ava ku mmere eyo kugitereka bubi.
Bino bituukiddwaako mu lukungaana lw’omukago gw’amawanga 54 aga ssemazinga wa Africa, olutudde e Ntebe.
Amawanga gonna gakkaanyizza bukuyege, okukolera awamu okumalawo ebizibu ebikyaliwo mu ngeri emmere gyeterekebwamu.