Gavumenti Etandise Okuwandiika Abaamawulire

0
716

Akakiiko akatwaala eby’amawulire mu ggwanga aka Uganda Media Council kabakanye n’omulimu gw’okuwandiika n’okukakasa abantu abakola omulimu guno mu ggwanga kisobozese gavumenti okulondoola emirimu gyabwe n’okutegeera byebakola.
Uganda Media Council mu mateeka, y’erina obuyinza okulunngamya emirimu gy’amawulire n’okukwataganya bannamawulire ne bannansi.