Kabaziguruka Ali Bweru, Yeeyimiriddwa

0
1045

Kyaddaaki Omukama essaala z’omubaka w’e Nakawa mu Paalimenti Micheal Kabaziguruka azaanukudde, kkooti bw’emukkirizza okweyimirirwa era nga ono akkiriziddwa okuva mu maka ge nga bweyeyanjula mu kkooti.
Omulamuzi Yasin Nyanzi y’akkirizza Kabaziguruka yeyimirirwe ku kakalu ka bukadde butaano ez’obuliwo wabula nga ateereddwako obukwakkulizo obukambwe ennyo omuli okweyanjula nga mu kkooti buli luvannyuma lwa ssabiiti bbiri n’obutamala gafuluma ggwanga nga omuwandiisi wa kkooti tategeezeddwako.