Kabaziguruka Attottodde Ebyali mu Kkomera

0
926

Omubaka wa Nakawa Micheal Kabaziguruka yeekokkola ennaku eri mu makomera ga Uganda, agambye nti gali si makomera wabula magombe gennyini.
Kaabaziguruka eyaakayimbulwa mu kkomera, agambye nti eby’okumusiba tebimuyigudde ttama, wabula bimwongedde amaanyi okulwanyisa efugabbi.
Agambye nti n’abamulinnya akagere be baamutaddeko okumulondoola si baakumuggya ku mulamwa.