Kato Lubwama Asekerede Abamuli Obubi

0
768

Omubaka Lubaga South omulongo Kato Lubwama asekeredde abamugguddeko olutalo nga bagamba nti empapula ze ez’obuyigirize mpewufu n’olwekyo tasaanira kutuula mu lukiiko lwa ggwanga.
Omulonzi w’e Lubaga, Habib Buwembo ng’ayise mu kibiina kya ba nnateeka ki ‘ Center for Legal Aid’ agamba nti Kato Lubwama teyafuna bbaluwa ya siniya ey’okuna kuba yagwa ebigezo n’ekoona n’enywa.
Ono Kato amusekeredde, n’agamba nti amwesunze mu kkooti ebalamule.