KCCA Etonedde Poliisi Emmotoka Z'omuliro

0
558

Ekitongole ekikulembera ekibuga Kampala ekya KCCA kidduukiridde police mu mulimu gwayo ogw’okukuuma obutebenkevu, bwe kiwaddeyo mmotoka 2 ezizikiza omuliro ne kiziwaayo.
Meeya w’e Lubaga Joyce Nabbosa Ssebuggwawo y’eyasaka mmotoka ezo okuva mu Bazungu, wabula asazeewo okuziwaayo ziyambe bannakampala bonna.
Nnamkulu w’ekibuga Jennifer Musisi bw’abadde akwasa poliisi mmotoka zino, asomoozezza ba meeya b’amagombolola amalala okutwala eky’okulabirako ekya Mukyala Ssebuggwaawo.