Lukwago Agaanye Okusisinkana Museveni

0
1019

Lord mayor wa Kampala Elias Lukwago yeepenye olukungaana lwe yayitiddwaamu president Yoweri Museveni ne minisita wa Kampala saako ba meeya b’amagombolola agakola ekibuga.
Lukwago yeewolerezza nti olukungaana lwa president terubadde ku mulamwa kubanga ensonga z’abayitira olukiiko lwe olwa KCCA lwamala dda okuzimulungula.
President yagenze okuyita Lukwago ne bakulu banne nga bano bazzeemu dda okwerumaaluma ne minisita ku nsonga ez’enjawulo.