Mugisha Muntu Akolokose Poliisi Lwa Ameefuga

0
670

Bannakibiina kya FDC batadde akazito ku police ya Uganda, baagala ennyonnyole lwaki yalinnye eggere mu ntegeka zabwe ez’okukuza ameefuga ga Uganda, ate n’ekkiriza ebikujjuko aba UPC bye baategese e Lira.
President Generala wa FDC Gregory Mugisha Muntu akolokose nnyo police olw’ekyo ky’ayise obusosoze mu nkola y’emirimu.
Aba FDC baabadde bategese olukungaana e Katwe, wabula police teyabaganyizza, era abakulembeze ab’enjawulo baakwatiddwa nga tebannatuuka mu kifo ekyo.