Mwewale Enjiri Ey'obukyayi-Dr Ciprian

0
1154

Ssabasumba we ssaza ekuulu erye Kampala Dr Cypriano Kizito Lwanga awadde abakiriza amagezi okwewala ababulizi benjiri abebicupuli abeyongera buli olukya era akakasiza nti mweralikirivu nti abantu bakatonda bandibuzibwabuzibwa.
Ssabasumba asinzidde mukusaba okwa buli mwaka okwa bavubuka mu ssaza lino erye Kampala okubadde ku ku biggwa by’abajulizi e Namugongo n’agamba nti abantu bano bakoze kinene nnyo okubuulira enjiri ey’obukyayi n’okwawulayawula mu bantu.