Nkangi Bamulumirizza ku Byapa By'omu Lwera

0
893

Ababaka ba paalimenti bawuniikiridde leero, olw’obujulizi bwe balabyeko n’agabwe nga bulaga nti eyali akulira ekitongole ky’ettaka Mzee Joash Mayanja Nkangi, yakuba ekyapa ky’ettaka mu mannyage, n’akikyusa okukizza mu mannya ga John SSebalamu mu ddakiika 15 zokka, ekintu ekitasoboka.
Ebigambo byeyongedde okukula, abakungu mu ministry y’ebyettaka bwe beegaanye ekyapa kino, nga bawoza kimu nti ekyo ekyapa kirabika kijingirire.
Bino byonna bibadde mu kakiiko ka paalimenti akavunanyizibwa ku by’obugagga eby’ensibo.