Oggwa Seeka Kamoga ne Banne Guwuliddwa

0
845

Leero okuwulira omusango oguvunaanibwa Seeka Kamoga ne banne e 12 gutandise okuwulirwa ku kkooti enkulu mu Kampala era oludda oluwaabi luleese abajulizi abasoose abasatu.
Abajulizi abalabiseeko mu maaso g’omulamuzi kubaddeko abaserikale ba poliisi babiri n’omukozi mu ddwaliro Seeka Mustapher Bahiga gyeyasooka okutwalibwa nga yakakubwa amasasi.