Omusenyu Gwa Lwera Guyisizza Drake Lubega

0
645

Omugagga w’omu Kampala Drake Lubega atunudde ebikalu mu paalimenti leero , bw’awanyisiganyizza ebisongovu n’ababaka abatuula ku kakiiko akavunanyizibwa ku kuuma obutonde, nga bamuvunaana okujeemera ebiragiro bya NEMA.
Omugagga Lubega kigambibwa nti kampuni ye ey’a TESCO ebadde esima omusenyu mu nnyanja Nalubaale, kyokka ekiseera kyatuuka NEMA n’emulabula akikomye n’agaana.
Ono yegaanye ekya NEMA okumulabula, ababaka kwe kumuggyirayo obukakafu bw’ebbaluwa.