Omusumba Kaggwa Awalabudde Fr. Kibuuka

0
1186

Omusumba w’emasaka John Baptist Kaggwa akolokokose abasumba abamu abefunyiridde ku kuwabya abagoberezi ba Ekeleziya, nagamba nti ebikolwa byabano byabwewussa, babikola naye nga bamanyi bulungi nti obulombolombo bwa ekeleziya tebubikiriza.
Omusumba Kaggwa asinziidde ku kyabantu ababiri abawereddwa obusaserodoti mu kiwayi ekikulemberwa Father Jacinto Kibuuka.