Omuyaga Gusanyizzaawo Ebiwera e Masaka

0
646

Ennyumba ezisoba 25, emisiri gy’emmere n’ensuku by’ebisanyiziddwawo mu district y’e Bukomansimbi oluvannyuma lw’enkuba ebaddemu kibuyaga ow’amaanyi okutonnya mu kitundu kino.
Abatuuze bangi basigadde beemagaza n’okwevuma enkuba eno, bagamba nti bamaze ebbanga ddene ng’omusana gubookya ate enkuba olutonnye ebalese sseke.