Poliisi Yeezoobye N'abavubuka Ba UYD

0
588

Abavubuka b’ekibiina kya Uganda Young Democrats bukedde kubeefuka ne poliisi enkya y’aleero bwebakedde okugumba ku kitebe kya Amerika nga bawanjagira Abamerika okulonda omusajja ateerya ntama Donald Trump.
Abavubuka bano abeeyise abawagizi ba bifeekeera Donald Trump, balumiriza nti ono ye musajja enjasabiggu anaagoba ba nnaakyemalira, era bwe bubaka bwe baagadde okutuusa eri Abamerika.
Wabula poliisi tebaganyizza, ebakutte ng’ebalanze okusaalimbira mu kifo we batayitiddwa.