Wakayima Akiriziddwa Okujulira mu Kkooti

0
1120

Omubaka akiikirira ekibuga Nansana mu paalimenti Wakayima Musoke Nsereko agende alye enkoko ye, kkooti ejulirwamu eramudde nti agire ng’asigala mu kifo ekyo, olw’ensonga nti kkooti enkulu bwe yamugoba mu paalimenti, ate omulamuzi teyamuwa nsala ya musango ogwo.
Wakayima Musoke kkooti enkulu yasalawo aggyibwe mu paalimenti kubanga erinnya lye teryalabikira ku lukalala lw’abalonzi, ate nga n’amannya g’akozesa gatankanibwa.