Ogwa Kato Lubwama Gufuuse Nattabukka

0
1070

Kkooti enkulu egobye abawagizi b’omubaka wa Lubaga South Paul Kato Lubwama olw’okusiiwuuka empisa ne beekalakaasiza mu kkooti nga bawakanya engeri oludda oluwaabi gye lukuttemu ebintu akasoobo ekivuddeko omusango okukandaalirira.
Mu musango guno munnaLubaga Habib Buwembo ayagala Kato Lubwama aggyibwe mu paaliemnti ng’agamba nti empapula ze ez’obuyigirize zirimu ebirumira.
Kati ekizze mu ddiiro kya kwekenneenya biwandiiko bya Buwembo okukakasa oba nga ddala mulonzi, era omusango gwongezeddwaayo okutuuka ku lw’okutaano.