Abakulembeze Beevumye Lwa Ttaka e Kyankwanzi

0
1113

Abaganda bagamba nti enjovu ebbiri wezirwanira omuddo gwegubonabona, nabatuuze abasoba mu lukumi e Mubende bolekedde okufuuka emomboze munsi yabwe, kuba waliwo abesomye okubagoba ku ttaka kwebali.
Abantu bano basangibwa ku byalo mukaaga, era balangidde abakulembeeze baabwe omulugube nobuli bwenguzi, ku kikwatagana nettaka lyabwe, nga kati balinze abalumba bafafagane.