Akakiiko K'ebyokulonda Keewolerezza ku Musango Gwa Kato Lubwama

0
1166

Akakiiko k’ebyokulonda kawakanyizza okusaba kw’omulonzi w’e Lubaga South Habib Buwembo ayagala kkooti ekkirize okwongezaayo ekiseera ky’okwemulugunya mu kulonda asobole okusaba Kato Lubwama agobwe mu paalimenti. Akakiiko kagamba nti tewali nsonga yonna y’amaanyi ewaliriza kkooti okwongezaayo omusango guno era nga okusaba kuno kulaga bugayaavu.