Enkaayana Zigudde mu FUFA, Ekitebe Bakizinze

0
1089

Ekibiina ekitwala omuzannyo gw’omupiira mu ggwanga ki FUFA enkya ya leero kigudemu entiisa abaagusambako bwe bakuunze abavubuka nebalumba ekitebe kya FUFA e Mengo nga beekalakasa ku nsonga eziwera. Abagusambako bagamba FUFA ebasosola, abamu bagamba FUFA yafuuka kampuni ya nkwanga, soo abandi baagala Moses Magogo abaviire ku mupiira.