Akena Aziikiddwa, Kayihura Asuubiza Okunoonyereza

0
1043

Ssabapoliisi Gen Kale Kayihira adduse za mbwa okutuuka e Kitgum n’akakasa ab’olugenda lw’omugenzi Kenneth Akena nti ebyogerwa mbu eriyo abanene mu Gavt abagezaako okussa emisanvu mu kkubo ly’okunoonyereza ku nfa y’omuntu waabwe ono eyattibwa ku Lwomukaaga oluwedde, ssi bituufu.
Kayihura ategeezezza NBS oluvannyuma lw’okuziika Akena nti bateekwa okuzuulira ddala amazima ku nfa y’omusajja ono era amateeka gongere okukola ogwago.