Ababaka Bavumiridde Okukwatibwa Kw'omusinga

0
990

Ababaka ba paalimenti abali ku ludda oluvuganya gavumenti mu ddoboozi ely’omwanguka bavumiridde ettemu eligenda mu maaso mu district ey’e Kasese n’eddembe ly’abantu elirinyiriddwa nga balumiriza gavumenti nti tekoze kimala mu buyinza bwayo okukomya ekitta bantu ekiri erudda eyo.
Mungeri y’emu bano bawadde poliisi nsalessale wa bbanga ttono nga etadde Omusinga wa Rwenzururu n’abantu abalala abakwatiddwa okuva okulwanagana kuno lwekwaddamu.
Abalala abakwatibwa kuliko ne munnamawulire wa KTN e Kenya Joy Doreen Biira nga ono e Kasese yali agenzeyo  okwetaba ku mukolo gwe ogw’okwanjula omwami we.