Abakolera e Makerere Balaajana Lwa Kuggalwa

0
669

Okuggalwa kwa Yunivasite y’e Makerere tekukosezza bayizi bokka abaalagiddwa okumyuumyulamu obwabwe okubuzza eka wadde abazadde nga bangi ku bbo baali bamala dda n’okusasula ebisale by’abaana baabwe, wabula kukosezza n’abalina bizinensi munda mu yunivasite ne mu bitundu ebiriranyewo abayizi mwebabadde bawangalira ennyo.
Salma Namwanje yeetolodde ebitundu ebyenjawulo omuli Makerere Kikoni ng’eno bangi abava ebweru gyebabadde basula ne mu kikumi kikumi okutunuulira bizinensi ezimu bweziyimiridde mu kiseera kino era nga bangi abasanze bemagazza bwemagazza olw’okusoberwa.