Abalala Bakwatiddwa e Kasese

0
1092

Obunkenke bweyongedde e Kasese era nga ekitongole kya Poliisi kikakasizza nga abantu 63 nga ku bano 14 baserikale ba poliisi bwebafiiridde mu kulwanagana okwabalukawo ku nkomelero ya sabiiti gyetwakakuba amabega.
Poliisi era ekakasizza nga bwesobodde okugombamu obwala abantu 139 abalowoozebwa okubeera emabega w’okulwanagana kuno era nga esobodde n’okukwata ebyokulwanyisa ebiwera omuli amajambiya, ebyambe, obusaale n’ebirala.