Abalwadde Ba Mukenenya Basinga mu Buganda

0
1111

Ekibiina ky’amawanga amagatte ekirwanyisa obulwadde bwa mukenenya ki UNAIDS kyeyamye okukolera awamu n’obwakabaka bwa Buganda mu lutalo olw’okulwanyisa Mukenenya nnamutta.
Obweyamu buno bukoleddwa mu nsisinkano wakati wa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n’omukungu atwala ekitongole ekyo mu Uganda, oluvannyuma lw’okukizuula nti ekirwadde kino kisinze kusenkenya bantu ba Buganda.