Abasiraamu Boogedde Ebikankana e Kibuli

0
999

Omuddumiizi w’amagye ga Uganda Gen Katumba Wamala alabudde nti bonna abali emabega w’okutemula banabwe nga bw’ekikoleddwa ku Maj Muhammad Kiggundu nabo bagwana bakimanye nti ennaku zaabwe zigenda kutuuka.
Generali Katumba Wamala naye abuzeeko akatono okwoza ku munnye ategezeza nti mweteefuteefu okukwatagana n’omuntu yenna anabayambako okufuna baki abali emabega w’ettemu lino. Era nakoma ku seeka Muzaata abadde akubiriza abantu okufuna amajambiya batandiike okwerwanako.