Abatta Abalala Beebasse Major Kiggundu -Wa Daawa

0
1012

Ab’oluganda ab’emikwano nabakulembeeze bobusiraamu abatali bamu bagenze kanaguluba ku ggwanika e Mulago okukakasa oba nga ddala kibadde kituufu nti Seeka Maj Muhammad Kiggundu abadde atiddwa.
Wabula obwedda buli atuuka talema kwoza ku munye, era abasinga bawuliddwako nga bagamba nti obutakanya mu busiraamu ne Maj Kiggundu bumututte.