Abayizi Bawadde Gavumenti Nsaleeensale ku Makerere

0
613

Eby’okuggala Makerere University biwalirizza abayizi okuwanvuya ku ddoboozi nga basaba gavumenti eggulewo mu bwangu baddemu okukwazza emisomo.
Olwaleero poliisi yeezoobye n’abayizi abasazeewo okwekalakaasiza mu kibuga Kampala wakati nga bavumirira gavumenti okubalumya.
Bo abakulembeze b’abayizi bawadde gavumenti ennaku 3 ng’egguddewo, awatali ekyo ensonga baakuzongerayo.