Ab'e Kalungu Enjala Ebaliisa Ekibu Ky'emmere Kimu

0
505

Enjala kakutiya egobye bumale mu district y’e Kalungu mu Buddu,ekyeya ekyokezza ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo e Kalungu tekireseeyo kimera kiyimiridde.
Ezaali ensuku z’amatooke zonna kati matongo, ezaali ennimiro bifuuse byererezi, abatuuze basiibirira miyembe abo Katonda baasaasidde balya ekibu kimu.