Ab'e Mbarara Batuuzizza Omugabe

0
691

Poliisi e Mbarara erinnye eggere mu mukolo gw’okutuuza Omugabe w’e Ankole ku Namulondo ya bajjajja be, omukolo ogubadde gutegekeddwa mu kisaawe kye Kakyeka mu kibuga Mbarara.
Okusinziira ku poliisi, bano bwebaali basaba olukusa okuva ewa Ssabaduumizi wa Poliisi Kale Kayihura bategeeza nga bwebaali bategeka omwoleso okutumbula obuwangwa bw’abanyankole kyokka poliisi kyagibuuseko ate okutegeezebwa nti bano baabadde betuminkirizza okutuuza Omugabe.
Wabula newankubadde poliisi yabalemesezza, beeyongeddeko ku kyalo Itaba Kyabanyoro mu district eye Rwampara nebatuuza Asiimwe Rubambasi Ntare ow’okutaano nga Omugabe omuggya.