Ab'ee Mubende Beekalakaasizza Lw'amasanyalaze

0
679

Okuvaako e Mubende abatuuze b’e Kakungube beegugunze ne baziba n’oluguudo mwasanjala oluva e Mubende okudda e Kampala nga bavumirira ekitongole kya UMEME okubakuumira mu nzikiza ebbanga erikunukkiriza mu myezi 3.
Abatuuze bookezza ebipiira ne basuula emisanvu mu kkubo nga tewali mmotoka eyita, okutuusa poliisi lw’ebakubyemu omukka ogubalagala olwo ne babuna emiwabo.