Baleeta Tteeka Ku Kukolera Gavumenti

0
1068

Ababaka ba paalimenti bafungizza mu lutalo olw’okulwanyisa ebbula ly’emirimu naddala mu bavubuka ab’omulembe guno.
Ababaka abano nga bali bumu ne bannaabwe abakiikirira abavubuka mu paalimenti, baagala bawebwe akadde babage etteeka erinaajuna omuvubuka wa leero.
Mu kyo baagala gavumenti eteekerewo abavubuka omwaganya, ng’olumaliriza emisomo ku university, kibakakatako okuweereza gavumenti, bafune obumanyirivu mu biusaawe eby’enjawulo.