Bamusse Nebamusuula ku Kkubo

0
1136

Mu bitundu by’e Kawaala okumpi n’oluguudo mwasanjala olwa Bypass abatuuze bakeeredde mu ntiisa bwe bagudde ku mulambo gw’omusajja ateeberezebwa okuba omubbi. Kirowoozebwa nti ono ob’olyawo baamukwatidde mu bubbi ne bamutta, omulambo ne bagusuula mu kitundu ekyo. Bibadde bikyali bityo ne bazuula n’omuwala eyagudde mu bakambwe ne bamusobyako, era baamuleseemu kateetera.