Bbanka Yeegaanye Kkampuni ya EUTAW Ku Musango Gwa Byandala

0
1178

Omusango gw’obukenuzi oguzingiramu n’eyali minisita Abraham Byandaala nga gwekuusa ku nsimbi ezaawuwuttanyizibwa mu kuzimba oluguudo lw’e Katosi gukyalanda. Abajulizi abalala baleeteddwa mu kkooti ewozesa abakenuzi era abantu babiri bebawadde obujulizi nga bano kubaddeko eyali omukozi mu Housing Finance Banka n’omukugu mu bya technologiya w’empuliziganya.