Beelingi Enjingirire Zikwatiddwa mu Kampala

0
765

Ekitongole kya Police ekikola kugw’okulwanyisa ebijingilire; kiliko eby’amaguzi ebibalirwamu obukadde bw’ensimbi obusoba mu 100 byebakutte mu bitundu bya Kiseka ne Shauriyako; olw’obutatuukana na mutindo.
Kiddiridde okufuna okwemulugunya okuva eri kampuni ya SKF okuva mu gwanga lya Sweden, okwemuluginyiza Poliisi ya Uganda nga bwewaliwo amaduuka agatunda ebyuma bya beelingi nga byebafanayiliza ebikolebwa kampuni eno.