Besigye Agaliddwa, Awadde Kkooti Obukwalikulizo

0
560

Eyali Pulezidenti wa FDC rtd Col Dr Kizza Besigye atabukidde mu kkooti e Nakawa gyasinzidde okuwa omulamuzi obukwakkulizo okuwulira omusango ogumuvunaanibwa era asalewo ekyenkomeredde nga agamba nti akooye okwewuuba nga mu kkooti buli olukedde ate oludda oluwaabi nelusaba nga kkooti okugwongezaayo okusobola okwongera okwetegeka.
Besigye okulya mu ttama abadde alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Sajjabi Noah okuwulira omusango ogwamuggulwako okulya mu nsi ye olukwe era eno gyasinzidde nalangira kaliisoliiso wa gavumenti okumumaliranga obudde nga amujwetekako emisango egitaliiyo era gyatalinako bujulizi.