Besigye Atabukidde Museveni Lwa Makerere

0
668

Munnaakibiina kya FDC Dr Kizza Besigye avuddemu omwasi ku nsonga za Makerere University, awadde president Museveni ennaku 10 ng’aggudde ssettendekero oyo, bw’ataakikole waakukunga bannayuganda beekalakaase. Ebizibu bya Makerere tebinnaggwa, era eggwaga lyonna liri mu kizikiza nga mpaawo amanyi ddi lw’enaggulwa abayizi baddemu okukwazza emisomo.
President yalagira bagiggale oluvannyuma lw’abayizi okwekalakaasa n’abasomesa nga beediimye olw’ensako gye babanja.