Cranes Yeetegekera Zambia mu Gw'omukwano

0
637

Tiimu y’eggwanga ey’omupiira The Uganda Cranes olwaleero etendekeddwa mu kisaawe e Namboole nga bwe yeetegekera omupiira ogw’okwegezaamu ne Zambia enkya ku lw’okubiri.
The Cranes era yaakuttunka ne Congo Brazaville ku lwomukaaga mu mpaka ez’okusunsulamu abanaavuganya ku kikopo ky’ensi yonna.
Wabula omwaka we gunnagweerako bano ensowera banaaba bagigobya lulimi olw’emipiira emingi egibalinze.