Ebyalo Bisigadde mu Kibululu Lwa Bubbi

0
973

Abatuuze b’e Walukuba – Masese mu kibuga Jinja basigadde mu kibululu nga tebalina masannyalaze, anti ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME kyabakedde nga mmisa ne kigasalako lwa kubba masannyalaze.
Kigambibwa nti mu division yonna ey’e Walukuba Masese abantu 10% be bokka abasasula amasannyalaze, abasigadde bonna bagabba bubbi.
Bo nno abatuuze basigadde beekangabiriza nti abakozi ba UMEME bennyini be babayambako okugabba, naye kati babeefuulidde.